Return to Index

59

60

YESU nga bwe yazalibwa

61
SongInstrumental
	

1 YESU nga bwe yazalibwa, Mu kibuga-ekinyoomebwa Bamalayika bayimba: Ekitiibw(a) eri Katonda. 2 Tusanyuke n'okuyimba Yesu azaaliddwa leero; Bamalayika bayimba: Ekitiibw(a) eri Katonda. 3 Basumba bwe baawulira Oluyimba olw'omu ggulu, Baasanyuka nnyo nnyini; Ekitiibw(a) eri Katonda. 4 Leero nammwe-abawulira Mugende e Beesirekemu, Muwulire-oluyimba: Ekitiibw(a) eri Katonda.