Return to Index

60

61

AYI Kitange nkwesiga

62
SongInstrumental
	

1 AYI Kitange,nkwesiga Okumbeeranga Mu-ebyo-ebinambangako Mu mwaka guno: Sisaba kuggyibwako Bizibu byonna, Kyokka nsaba-erinnya lyo Lyebazibwenga. 2 Mwana ki-eyeerondera Ye by'ayagala? Ebirungi kitaawe Tabimugaana. Bulijjo-otuweereza Emikisa gyo; Kyenvu nsaba-erinnya lyo Lyebazibwenga 3 Bw'onompa mu bulamu Ebisanyusa, -Essanyu lyange lye nnina Lineeyongera: Ka nnyimbenga bulijjo Amatendo do, Mu byonna erinnya lyo Lyebazibwenga 4 Bw'onompita-okwetikka -Omusaalaba gwo; Ne gundeetera-ennaku N'obuyinike; Kandowooze ku Yesu Mu kitiibwa kye. Bulijjo,erinnya lyo Lyebazibwenga.