Return to Index

61

62

TWEYANZIZA-ekisa kyo

63
SongInstrumental
	

1 TWEYANZIZA-ekisa kyo Okututuusa fenna, Mu mwaka guno-omuggya Ayi Kitaffe, wulira. 2 Mu bunafu n'ennaku, Ka tuddukire gy'oli Ng'ekkubo litubula; Yesu-otukulembere. 3 Bwe tulisemberera Ekiwonvu-eky'okufa, -Omuggo gwo n'oluga lwo Bye biritusanyusa. 4 Bulijjo tubeerenga Beesigwa,balongoofu; Ka tugumiikirize, Otusaayize-engule. 5 Mu nsi ey'omu ggulu, Tulikuba-ennanga-empya Nga tukusuuta wekka, Ggwe-afuga-abantu bonna