Return to Index

62

63

ABAGEZIGEZI-edda

64
SongInstrumental
	

1 ABAGEZIGEZI-edda Bwe baalaba-emmunyeenye Baagiraba n'essanyu Ne bagigoberera; Naffe Yesu Mukama, Twagala-okukulaba 2 Bo baagenda mangu nnyo Okunoonya-Omwana-oyo; Eyafuga-ensi zonna N'akka ku lwaffe-ababi; Bwe tutyo twanguweko Tunoonye-Omulokozi. 3 Bo baawaayo-ebirabo Eby'omuwendo-omungi Ne babimutonera Asinga bonna-ab'ensi; Bwe tutyo naffe leero Tweweeyo Yesu gy'oli. 4 Yesu ggwe-ennaku zonna -Otukuumenga-olw'ekisa; N'eby'ensi bwe biriggwaawo; -Otutwalenga n'essanyu Etabeera nzikiza, Gy'olabikira ddala. 5 Mu nsi ey'omu ggulu Tebeetaaga ttabaaza; Ggwe musana n'essanyu, Ggwe njuba eteggwaawo, Yesu otutuuseeyo; Tusuutenga-erinnya lyo