Return to Index
63 |
64
MMUNYEENYE-eyakira bonna
|
65 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MMUNYEENYE-eyakira bonna
-Abatambula-ekiro!
Otwakire otuwonye
Mu nzikiza yaffe.
2 Jjangu! Muwanguzi waffe,
Yolesa-amaanyi go,
Ensi zonna zikusuute,
Zikugulumize.
3 Leero-ebitonde byo byonna
Bikaaba bisinda,
Awamu n'emyoyo gyaffe
Nga tukusuubira.
4 Ggwe-eyeetikka-omusaalaba
Otuwonye-okufa.
Musuutwa waffe, labika,
Jjangu:tukwetaaga.
5 Labika n'ekitiibwa kyo,
Weetikkira-engule,
Naffe ne bamalayika
Tusinzize wamu