Return to Index

66

67

ABANTU abaabeeranga

68
SongInstrumental
	

1 ABANTU abaabeeranga Mu nzikiza y'ensi Omusana gubaakidde Okugoba-okufa. 2 Watutikkula-emigugu N'omenya-omujoozi, Nga bwe wakola-omulabe, Ku lwa Midiyaani. 3 Anaayitibwanga-erinnya Kabaka-ow'amaanyi, Kabaka ow'emirembe, Katonda-omwagalwa, 4 Jjangu Enjuba-Entukuvu Mulisa-ensi zonna; Bonna bajjule-essanyu lyo; Mu mitima gyabwe. 5 Omwana atuzaaliddwa -Omwana-atuweereddwa; -Obuyinza bwe bulifuga, Mu ggulu ne mu nsi. 6 Buyinza bwe bulibuna Mu mawanga gonna; N'ensala ze ez'ensonga, Za mirembe gyonna. 7 Kale Yesu,jjangu leero Wamu ne Kitaffe; N'Omwoyo Omutukuvu Tufugire ddala