Return to Index

69

70

YESU ffe mu maaso go

71
SongInstrumental
	

1 YESU ffe mu maaso go Tufukamidde leero: Twatula-ebibi bingi Amaziga ne gajja Ku lw'okwagala-okungi Okwakuleeta mu nsi, Ng'oyima waggulu-ennyo Yesu! otuwulire. 2 Ku lw'ekisa kyo-ekingi Ekyakufuula-omwana, N'obuzaaliranwa bwo Bwe wafuuka omuntu: Ku lw'okukemebwa kwo Okw'entiisa mu ddungu, Ng'oyima waggulu-ennyo, Yesu! otuwulire. 3 Ku lw'okusaasira kwo Bwe wanyolwa omwoyo Ku ntaana ya Laazaalo, Ne ku Yerusaalemi! Ku lw'entuuyo-ez'omusaayi N'Okusaba kwo-okungi, Ngo'yima waggulu-ennyo, Yesu! otuwulire. 4 Ku lw'okulumwa-okungi, Ku lw'okusaba-okungi; Ku lw'engule ya maggwa, Era n'emisumaali, N'effumu mu mbiriizi, N'okukaaba-okw'entiisa, Wawaayo-obulamu bwo; Yesu! otuwulire.