Return to Index

70

71

BINKOOYESA-ebibi byange

72
SongInstrumental
	

1 BINKOOYESA-ebibi byange Ne njagala-okuwummula: Ggw'oli kigo kyange,Yesu Mwe neekwekanga bulijjo; Ggwe muwolereza wange Mukama wange ddala ggwe. 2 Okwagala kwo kusinga Amaayi ebibi byange Nzize gy'oli, gunsinze nnyo, Ogolola-emikono gyo: Omwonoonyi-omusembeze -Omunaaze mu musaayi gwo. 3 Ontambuze mu kkubo lyo, Ka nzire mu bigere byo, -Olw'ekisa mpa ku maanyi go, Obutayonoona nate, Ebyagwa mu mwoyo gwange, Obirongooseze ddala. 4 Omwoyo ogukutya ggwe, Ogwagala-amateeka go, Ogumpe nze,omuddu wo Nneme-okuva mu maaso go, Yesu Mukama wange,nze Neeweeyo mu mikono gyo