Return to Index
71 |
72
TULI boonoonyi ddala
|
73 |
Song | Instrumental |
|
|
1 TULI boonoonyi ddala,
Abasibiddwa-ebibi;
Ggwe abeera-abanaku,
Otusaasire,Yesu
2 Tetulina bulungi
Mu byonna bye tukola,
Ggwe-otegeera bwe tuli,
Otusaasire,Yesu
3 Tetwanganga kugenda
Gy'oli mu kitiibwa kyo;
Eyamanyiira-ennaku;
Otusaasire,Yesu.
4 Ssetaani yatusiba
Mu kkomera ly'ebibi ;
Otufuule ba ddembe,
Otusaasire,Yesu.
5 Ali omu mu ggulu
Atulokola yekka,
Tatuggalira bweru;
Otusaasire,Yesu.
6 Ye atuwolereza,
Mu maaso ga Katonda,
Ku bw'oyo tuwangula,
Tulituuka mu ggulu