Return to Index
72 |
73
MU kwetaaga kwaffe-okungi
|
74 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MU kwetaaga kwaffe-okungi
Tukoowoola,AyiKatonda,
Tusaasire,tega-okutu,
Tuwulire-olw'ekisa kyo!
Mukama bw'onoolabanga
-Ebibi n'ensonyi-eby'abantu
Aliyimirira-aluwa?
2 Naye kino kye tumanyi
Nga waliwo-okusonyiwa.
Eri ggwe Katonda waffe,
Awulira n'asaasira!
-Ekigambo kyo,Ayi Mukama
Kya nsuubira -ennaku zonna,
Nindirira ggwe Mukama.
3 -Abakuumi baalindirira
Obudde okukya,naye
Emmeeme yange-esinga nnyo
-Okuyaayaanira Katonda,
Kubanga-awali Mukama
Wewali okusaasira,
Mwenna mumusuubirenga.