74 |
75TUSAASIRE ffe-abanaku |
76 |
Song | Instrumental |
1 TUSAASIRE ffe-abanaku, Tuzirise olw'ebibi; Otubeere-Omulokozi Kubanga ggwe osaasira. 2 Tusonyiwe abeeneya, Tutambule mu maaso go Ng'aboonoonyi-abasonyiwe, Tukwebaze-Omulokozi. 3 Tuzze gy'oli-Omulokozi, Ggwe eyafa ku lw'abantu Naffe fenna aboonoonyi Tumanyi nti osaasira. 4 Tetukyatya omulabe, Takyalina maanyi gonna: Kale leka tukwesige, Tusaasire -Omulokozi