Return to Index

75

76

OWEEBWE nny(o) ekitiibwa

77
SongInstrumental
	

1 OWEEBWE nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana. 2 Kabaka-agaba-obuwa, Omwana wa Dawudi, Mu linnya lya Mukama, Eyajja gye tuli. Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana. 3 Bamalayika nabo Baasuuta-erinnya lyo; Abantu n'enitonde Mu nsi ne baddamu Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana. 4 Abayudaaya-ensansa Baakukulembeza; Naffe tuyimba-ennyimba Nga tutendereza. Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana. 5 Bo baakutendereza Eyafa ku mit: Ffe tusinza n'ennyimba Kabaka-afuga-ensi. Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana. 6 Ennyimba ez'abaana Ggwe wazikkiriza Naffe-era totugaana Byonna bye tusaba. Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N'emimwa gy'abaana.