Return to Index

76

77

BWE ndowooza-omusaalaba

78
SongInstrumental
	

1 BWE ndowooza-omusaalaba Mukama gwe yafiirako, -Obugagga bwonna obw'ensi Mbulaba nga tebuliimu. 2 Bwe ndaba-amazzi n'omusaayi- Ebyava mu mbiriizi ze, Ne ntegeera-okusaasira N'okwagala kwe bwe kuli. 3 Yesu Mukama onkuume, Nneme-okwenyumirizanga, Kino kyokka kinsanyuse Wanjagala n'onfiirira. 4 Singa mbadde n'ensi zonna Ne nziwaayo Yesu gy'oli; Zonna tezandisasudde Ebbanja lyange-eryenkanaawo- 5 Naye ky'oyagala leero, Era kye ndeese nze eri ggwe, Kwe kwagala kwange kwona, Nkuweereze,nkusanyuse.