Return to Index

78

79

OMUTWE gwa Mukama

80
SongInstrumental
	

1 OMUTWE gwa Mukama, Ogwafumitibwa Amaggwa ge baaluka Okukuduulira. Ye ffe abandirabye Ennaku zo zonna, Mu kifo kyo bandisse Ffe-abalina-ebibi. 2 Tuli boonoonyi ddala, Ggwe-oli Mutukuvu; Mu maaso ga Kitaawo Toyonoonangako. Twewombeese kaakano, Tukuvuunamidde, Tusaanidde okufa Naye otulokole. 3 Naafuna ntya-ebigambo Eby'okukwebaza? Wayiwa-omusaayi gwo Ku lwaffe ku muti. Essanyu lye watuwa Tunaalyenkanya wa? Lisinga lyonna lyonna Ery'omu nsi zonna. 4 Lulimi ki-oluyinza Okwolesa-ekisa, N'okwagala kwo-okungi Yesu bye walaga? Otenderezebwenga, Mulokozi waffe Kaakano n'okutuusa Emirembe gyonna