Return to Index

79

80

OKWAGALA okwo

81
SongInstrumental
	

1 OKWAGALA okwo Okw'Omulokozi Kwe yanjagala nze Nange-atasaanira; Kale nze-ani Omwonoonyi? Naye yafa ku lwange nze. 2 Baatendereza nnyo Nga bayimba-ennyimba, Nga bayimba-ennyimba, Nga bagamba bonna: Ozaana waggulu! Ate-amangu Ne bagamba: Komerera-Omulokozi. 3 Tewalina nnyumba, Ggwe eyatonda-ensi. Mu kufa, bonna bonna Baakwabulira Njogere ntya -Omulokozi Olw'okunjagala bw'otyo? 4 Yaleka-ekitiibwa N'aleetera-abantu Obulokozi bwe Ffe-abatasaanira: Yanjagala Nze-omwonoonyi N'awaayo byonna ku lwange. 5 Naye yakola ki? Yawonya-abalwadde; Abalema bonna -Era Ne bamuzibe Yabawonya. Kya kitalo, Kaakano bamuduulira! 6 Ka mbeere nga nnyimba Ku mukwano gwange; Ye Kabaka, naye N'anjagala bw'atyo Mu bulamu Bwange bwonna, Ka nkwagale-Omulokozi