Return to Index

80

81

EWALA mu Buyudaaya

82
SongInstrumental
	

1 EWALA mu Buyudaaya, Eriyo-olusozi, Kwe yatufiirira Yesu, Ye Mukama waffe. 2 Ffe-abantu be tetumanyi Ennaku bwe zaali, Ze yalaba ku lw'abantu, -Omulokozi Yesu. 3 Yafa ffe tufune-eddembe Atuwe n'obulamu: Yafa atutuuse-ewuwe Gy'atudde mu ggulu. 4 Tewali-eyandiyinzizza Kulokola munne, Newankubadde ye yekka Kusinga-omusango. 5 Mukama y'ayinza yekka Okutuggulira Oluggi olw'omu ggulu, N'okutuyingiza. 6 Tusaanidde ffe twagale Mukama waffe-oyo; Tweweeyo-okumuweereza Eyatufiirira