Return to Index

81

82

EKIBI kiruwa kye wali-okoze?

83
SongInstrumental
	

1 EKIBI kiruwa kye wali-okoze? Baakuvunaana ki Mukama waffe? Era-omusango gwakusinga gutya? -Omwagalwa waffe! 2 Wakubibwa n'oduulirwa kitalo; Ennaku ze walaba tezirabwa; Awo-ne bakukomererawaggulu Ku musaalaba. 3 Ensonga y'ebibonyoobonyo byo ki? Lwaki walaba-ennaku-ez'ekitalo? Zaakusanga lwa bibi byange byonna, Mukama wange! 4 Okwagala kwo tekutegeerekeka: Ku lw'endiga omusumba alumwa? -Omwami afa mu kifo ky'omuddu we? Wafa ku lwange, 5 Ekisa kyo kimonyezza-okwegomba, Kwe nali nakwo eri-eby'ensi eno: Neeteeseteese okunyiikiranga, Nkusanyusenga