Return to Index

7

8

GGWE musana gw'obulamu

9
SongInstrumental
	

1 GGWE musana gw'obulamu, Yakiranga ddala mu ffe, Ekizikiza kyonna Ka kive mu myoyo gyaffe, Ng'otumulisa-,emmambya Ng'esaze. 2 Enkuba nga bw'etonnya, Ku bimuli ne ku muddo, Bw'otyo bw'otufukako Ekisa eky'omwoyo gwo; Ennyonta yaffe yonna, Eggweewo. 3 Ng'enjuba bw'emerusa; Ebibala eby'omu nsi, Bwe butyo-obulungi bwo Bwe bumeza-obutukuvu Tukuweerezenga ggwe, N'essanyu. 4 Ggwe wekka ssuubi lyaffe, So tewali akwenkana, Beera kumpi gye tuli; Mu makubo g'obulamu Tulyoke tutuuke-eyo; Mu ggulu.