Return to Index

83

84

YESU waali! Okufa

85
SongInstrumental
	

1 YESU waali! Okufa, Tokyayinza kututiisa: Yesu yakuwangula; Obulumi bwo bufudde! Aleruuya! 2 Yesu waali! bw'alijja, Baliva-ababe mu bafu: Yesu waali! Okufa, Gwe mulyango gw'obulamu. Aleruuya! 3 Yesu waali! eyafa, Okununula ffe-abantu; Leero tumusuute nnyo N'emyoyo emirongoofu; Aleruuya! 4 Yesu waali! tewali, Ddala kya kutwawukanya. Atukuuma bulijjo Buli wantu tatuleka. Aleruuya! 5 Yesu waali! yaweebwa -Obwakabaka bw'ensi zonna Tulibeera wamu naye. Aleruuya!