1 YESU eyali mu nvuba,
Ez'okufa ku lwa ffe,
Yawngula n'azuukira,
N'atuwa obulamu;
Ka tumwebaze ennyo,
Leka tuyimbe n'essanyu,
Nga tuyimba Aleruuya!
Aleruuya!
2 Obulamu-bwe bwalwanyisa
Okufa n'amagombe,
Newabaawo ssematalo,
Okufa ne kudduka;
Yesu yakuwangula,
Ekitabo kya Katonda,
Nga Ye Mujulirwa webyo .
Aleruuya!
3 Tukuume nnyo embaga-eno
Nga tujjudde essanyu;
Yesu ye Njuba y'emyoy,
Ayakire mu gyaffe,
Twolese empisa ze;
Alabikire mu gyaffe,
Ne tutaswaza linnya lye.
Aleruuya