Return to Index

85

86

ALERUUYA! Aleruuya! Aleruuya!

87
SongInstrumental
	

1 ALERUUYA! Aleruuya! Aleruuya! -Abaana ba Kabaka mwenna Musanyuke mujaguze, -Amaanyi g'okufa gafudde: Aleruuya! 2 Awo-olwatuuka Malyamu, Era ne Magudaleene, N'omukyala wa Kuloopa: Aleruuya! 3 Ku lunaku-olwa Ssabbiiti Enkya mu matulutulu Ne bagenda-awaali entaana: Aleruuya! 4 Ne basanga Malayika, Mu byeru n'abagamba nti: Yesu-agenze-e Ggaliraaya: Aleruuya 5 -Ekiro-ekyo_abatume baatya, Yesu n'ajja n'agamba nti: Emirembe gibe mu mmwe: Aleruuya 6 Tomasi bwe yawulira, Bwe baamulabidde ddala, N'abuusabuusa mu nda ye: Aleruuya! 7 Yesu n'agamba Tomasi Nti,Leeta omukono gwo, -Ogusse mu mbiriizi zange: Aleruuya! 8 Leka-okuba-atakkiriza, Tomasi n'amuddamu nti: Ggwe Katonda wange ddala Aleruuya! 9 Naye-alina-omulisa-oyo Akkiriza nga talina Ky'alabako n'akatono: Aleruuya! 10 Mu tendereze Kitaffe, N'ettendo libe-eri-Omwana, N'Omwoyo Omutukukuvu. Aleruuya!