Return to Index

86

87

KU Lunaku olukulu

88
SongInstrumental
	

1 KU Lunaku olukulu, Yesu lw'alirabika; Alitukung'anya fenna, Abaana be 2 Ebitundu byaffe byonna, Omubiri n'omwoyo, Biritwalibwa-eyo gy'ali, Mu ggulu. 3 Bijja kwawulibwa mu nsi, Ekiseera-ekitono, Omubiri ne gwebaka, Bwebasi. 4 Era omwoyo ogutafa, Ne gubeerawo gwokka, Nga gukyamulindiridde, -Okujja kwe. 5 Naye ku lunaku olwo, Birigattirwa ddala, Omubiri nga gwambadde, -Obutafa. 6 -Essanyu lyaffe nga liriba, Lingi ku lunaku lwe, Bwe tulimulaba Yesu, Mu ggulu. 7 Ayi Mukma waffe Yesu, -Otulung'amyenga fenna, Mu kkubo eriritutuusa, Ewuwo