Return to Index

87

88

LEERO lwa ssanyu nnyo

89
SongInstrumental
	

1 LEERO lwa ssanyu,nnyo, -Okunakuwala n'ekibi biggwaawo; Omwagalwa wange Azuukidde,kaakano ye mulamu: Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa? Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana. 2 -Omubiri mu kufa Gubeera nga guwumudde mu ntaana, -Okutuusa -olunaku Abafu bonna lwe balizuukira. Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa? Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana. 3 Okutya n'okufa Yesu ye abiwangudde-olwa leero; Yesu atwagala; Mu kufa n'obulamu-abeera naffe, Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa? Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana.