Return to Index

90

91

ALERUUYA! Aleruuya!

92
SongInstrumental
	

1 ALERUUYA! Aleruuya! Muyimbire Katonda; Muyimuse-emyoyo gyammwe Nga mujjudde nnyo-essanyu. Yesu yatiibwa ku lwaffe, N'ayiwa-omusayi gwe, Okununula ffe-abantu, Ye mulamu-,yazuukira. 2 -Amaanyi gonna-ag'emagombe Yagamenyera ddala, N'atuggulira oluggi Lw'obulamu-obutaggwaawo-. Yesu yava mu magombe; Ffe ku bubwe tulivaamu-; Ye yayingira mu ggulu; Naffe tulituukayo. 3 Ggwe wazuukira,Mukama; Ggwe-oli mwaka gye tuli: Olunaku luli kumpi, Naffe tulikungulwa. Nga enkuba n'omusana Bwe byengeza-ebibala: Bw'otyo Yesu bw'otubaza, Ebibala-ebirungi. 4 Aleruuya! Aleruuya! Tukusinza,Kitaffe, Naawe,Mwana,tukusinza, Wakuwangula-okufa. Naawe,Mwoyo,tukusinza, Atuwa obutukuvu; Aleruuya! Aleruuya! Twebaze-Obusatu