Return to Index

91

92

YESU Omulokozi

93
SongInstrumental
	

1 YESU Omulokozi, Azuukidde leero Bwe mutyo mujaguze Mmwe-abalonde mwenna. Kristo Omuwanguzi Nga takyafa nate; Ye Kabaka,okufa Tekukyamufuga. 2 Kale nno ka tukwate Embaga-ey'essanyu, Era tuggyewo mu ffe Byonna-ebitasaana: Ka tuleke eby'edda; N'obubi eby'edda; Tulye nga tusanyuka -Emmere ey'omu ggulu. 3 Mmwe mwenna-abazuukidde -Awamu ne Mukama, Munoonye-eby'omu ggulu So si eby'omu nsi Kristo bw'alirabika, Obulamu bwaffe, Ffe tulirabisibwa Fenna wamu naye