93 |
94ALERUUYA myimbe |
95 |
Song | Instrumental |
1 ALERUUYA myimbe, Leero Yesu-azuukidde, Tuyimbe nga twebaza Olw'okuwangula kwe. Aleruuya 2 Obulumi bw'okufa, N'amaanyi gaakwo gonna, Byonna abiwangudde: Naffe ka tujaguze. Aleruuya 3 Naffe-abaali-abasibe Mu buddu obwekibi Leero naffe tusinza: Ssetaani awanguddwa. Aleruuya 4 Ka tujaguze fenna Kubanga yawangula; Ka tuyimbe-amatendo Kuba tuli ba ddembe. Aleruuya.