Return to Index

94

95

LEERO azuukidde

96
SongInstrumental
	

1 LEERO azuukidde -Omulimu guwedde, Abasibe bateereddwa, -Okufa kuwanguddwa. 2 Yesu azuukidde Entaana njereere Abaagulibwa bawonye Balifuga naye. 3 Yesu azuukidde Mulamu takyafa, Anaatuwolerezanga Emirembe gyonna. 4 Yesu azuukide Mwenna musanyuke Mweyonger-okujaguza Kubanga azuukidde. 5 -Abakubi b'ennanga N'abayimbi bonna Muyimbe mwenna n'essanyu Yesu azuukidde