Return to Index

96

97

TUSINZA nnyo erinnya lyo

98
SongInstrumental
	

1 TUSINZA nnyo erinnya lyo Ayi Yesu Mukama, Awamu n'abantu bonna; Kababa waffe Yesu,afuga byonna. 2 Mumwebaze, mmwe-abattibwa Okubalanga ye Musinze-eyabafiirira: Kababa waffe Yesu,afuga byonna. 3 Nammwe Bayisirayiri be Abaanunulibwa, Musinze-Omwana wa Dawudi Kababa waffe Yesu,afuga byonna. 4 Abantu abaasonyiyibwa Olw'ekisa kye ye, Mufukaamirire Yesu: Kababa waffe Yesu,afuga byonna. 5 Amawanga gonna-agensi Muwulire Yesu: Erinnya lye lisinzibwe. Kababa waffe Yesu,afuga byonna. 6 Twagala okutuukayo Mu maaso ga Yesu, Okumweyanza bulijjo: Kababa waffe Yesu,afuga byonna.