Return to Index

98

99

MUMUSSEEKO-engule

100
SongInstrumental
	

1 MUMUSSEEKO-engule Omwana gw'endiga; Muwulire-amatendo ge Agatenkanika. Yimba mwoyo gwange, N'amaanyi go gonna, Oyatule Kabaka wo Eyakufiirira. 2 Mumusseeko-engule Omwana w'omuntu, Yawangula-abalabe be Abaamujeemera. Banabbi ab'edda Bye baamulangako, Byonna yabituukiriza Bwe yabeera mu nsi. 3 Mumusseeko-engule Nnannyini kwagala, Enkovu z'ebiwundu bye Zonna zirabika. Kino kya kitalo Ekitenkanika, -Emikono gye-emifumite Gye gituwa-obulamu- 4 Mumusseeko-engule Mukama w'eggulu, Eyatuwanguza fenna Abamweyabiza Mununuzi waffe, Kkiriza-ettendo lyo -Emirembe-agitalabika Lye giri kussaako